Ebiwanulibwa
Bino bye ebiwanulinbwa abyakakolebwa.
LocaleGuide.tar
Muno mulimu ebinnyonyola enkola eya locale, ko ne ensibuko eza pulogulamu
ezigenderako ezikuyamba okwegeza mu byo'beera eyize.
Enninyonyola eno ekoledwa okuyamba abo ab'agala okutegeerera mu byangu
kompyuta engeri gye esobola okukyusibwa olulimi mw'ekolera.
Era ekiwandiiko kino kisuubirwa okukuwa entandikwa kw'oyinza okusinziirira
okweyongera okuyiga ebisinga wo nga weyambisa ebiwandiiko ebya 'man'
ebijja ne *NIX ezisinga obungi, ko n'ebilala ku mukutu ogwa kompyuta.
luganda.tar
Muno mwe muli ensibuko eya locale eya Luganda, lg_UG (Ssi nsobi! Twafuna entuuma
entongole ey'ennukuta ebbiri mu kifo eky'essatu eza mu lug_UG). Fayiro eya
'charmap' esangibwa muno eyinza okubeera nga kweri ku kompyuta yo.
Wekkaanye: Locale eno kati yatongozebwa ne bagiyingiza mu 'glibc'.
Bw'obeera nga ku kompyuta yo olina glibc-2.3.x n'okugenda waggulu,
towanula luganda.tar. Kebera olabe nti olina locale lg_UG.
fileutils
Eno fayiro egandawaza zipulogulamu eza mu sistemu etabaganya kompyuta ezikola ku kukuuma n'okufuula
fayiro, okugeza nga okuzikolamu kkopi, okuzigattika n'okuzisangulawo.
findutils
Eno fayiro egandawaza zipulogulamu eza mu sistemu etabaganya kompyuta ezikola ku kuwenja ebiri mu
sistemu eya fayiro eya kompyuta.
|