Webale okulowoza ku kutwegatta ko



Bw'obeera oyagala okuwanyisagana birowozo oba n'okwegatta ku mulimu guno ogwa nakyewa, wereza obubaka ewa mutabaganya wa ttiimu ku
kompyuta@kizito.freeuk.com

Genderera bino:
Pulogulamu ezimu, nga L YX ne KDE, zirina enfo eza zo we b'ongerera okunyonyola engeri gye zikwata mu eby'okukolera mu nnimi ez'enjawulo. Gwe ky'oyagala okukolako bwe kibeera nga erina enfo eya yo, gikebere osobole okukwatagana n'abatereeza eby'ennimi aba yo - olwo ffenna tutegeeragane

Oba obadde tolina kye wasazze wo dda okukola ko, pulogulamu zino wammanga ze z'etaaga mangu abazikwata mu:

bashbison clispcpio diffutils enscript
flex gcal gettext grep
hello id-utils ident libc m4 make
make music ptx recode sh-utils sharutils
tar texinfo textutils wdiff

Okuwanguya omulimo oogw'oyo yenna abeera asazzewo okuwegatta ku kawefube ow'okusobozesa kompyuta okukolera mu Luganda tukunngaanyizza enkola ezikakasiddwa nti zigunja wo ebigambo n'ebyogero ebya kisayansi ne tekinologiya ebijja mu lulimi luno. Enkola zino zisange wano.