Bigenderwa byaffeAbakozesa kompyuta mu Yuganda abasinga obungi bamanyi olulimi Lungereza, ne kompyuta ze bakozesa mwe zikolera. Sso abantu aba Yuganda abasingira ddala obungi tebamanyi olulimi olwo, tebalina biseera biluyiga, era tewali ensonga nkulu elubayigisa - naye amagezi balina, bamanyi okusoma na kuwandiika ate bandiganyulwa okweyambisa tekinologiya ono. Kawefube ow'okusobozesa kompyuta okukolera mu Luganda ono ajja okusobozesa bulimw'ogezi ow'olulimi n'ezilufaanana okwetuusa ko obuyinza obufumbekedde mu tekinologiya ow'ebya kompyuta, k'abeere muyivvu nakinku oba eya koma ku kuyiga okusoma na kuwandiika.
Ebikulu ebyetaaga okukolebwa biri:
|